Nakirya Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2017
Lyrics
Nakirya - Dan Mugula
...
Leero Nakirya nze ndaba ku ki gwe abadde ampapya
Maama ndaba ku ki gwe abadde ampapya
Obwedda ndi na wakka wano ndi ku kizibu
Nga Anti nkulinda okukamala...
Nga atte bambi bwentambula wabweru ne Kwesitala
Naye nno gye nkubye ku liiso oyelura awaka
Ne nsooka nzijja akabugumu ake mbagilawo
Bwojja oyikayika bwoti osagala obudde
Mukwanao nsanyuse luno...
laba mukwano nsanyuse Luno...
Leero mukwano nakola kiki nze...
Olaba maama ompisa no'bulimba bwe simanyi
Neri ku mulimu gye nkola nze mpulura emunye
Ntere nyanguwe okutuuka amangu awaka
Naye bulijjo nze Ninye na bus okujja
Leero ku luno mpangisiza na taxi okwanguwa
Ntere nsingane omulungi kabilinage
Laba eno bwanekaneka...
Laba omwana bwanekaneka...
Laba Nakirya osaana kwemanya....
Waliwo bingi ebinsuza ndowoozaa..
Naye Obwedda nebwolaba nyumya nga nkoteka omutwe
Anti ne bwolaba nyumya nga ntakula omutwe
Mwattu ngenda ne ndowooza...
Nga atte eludda bwe nkuba plan ezo'mu maka
Olwo nno ngo'fusse omukyaala owo'mu maka
Olwo nno ngo'mpita na mwami ne nkajala
Ku luri ngenda kwemanya
Laba Nakirya ngenda kwemanya
Laba mukwano ngenda kwemanya...
Olina endabika esaana na kuteenda..x2
Olina amaaso agasinga silingi okutunuulira
Gasinga etabaaza okulaga ekiffo
Ogenze no'ntunulira otti nokamala
Omanyi bwontunulira enyo mpulira bubi
Mpulira engeri ye biyenje ebintambula
Atte gwe okilako omuyiiya ensuwa ya malwa
Laba enno bwanekaneka...
Laba Nakirya bwamulungula...
Laba ku lisso bwamulungula..
Kyoka Nakirya ogenda no'gayilira nokamala
Ku lino njagala mbaswazze abageyenguzi
Abaali bangeeya mbutuffu nsiinya omutwe
Bajje balabe ku kyaana ekindaaganya
Bajje balabe omukwano ogutwazilanya
Naye Nakirya nkusaba kimu nzee
Kyoka mukwano nkusaba olemenga okugeyengyula
Kubanga ebintu bye nkola nga nkutunulira
Ebimu nkola bya nsobi nga mpapa bupapi
Nga anti ndowooza ekitiibwa engeri gyo'limu
Laba eno bwanekaneka
Laba Nakirya bwanekaneka..
Laba eliiso bwamulungula...