Njagala Nyo Mukama Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2023
Lyrics
Njagala Nyo Mukama - WILSON BUGEMBE
...
Njagalanyo mukama ,
njagalanyo ansitule,
njagala angate ku abo bayita Abana be.
Nange mulabeko nga akola,
Nange mpeko kubujulizi,
Njagala nyo mukama no mutima gwange .
Buli lwe mulaba kumusalaba ,
Navumibwa Nakubwa,
Laba bwafuka omusiru ku lwange omu
Ee abange yanjagala mukama,Nange nsanye nmwagale,
mbela mubi nyo nyo wesiba wuwe,
So no nekilala njagala nyo abawala,
Nyumirwa nyo abakazi, buli lwe ndaba esikati mpulira Nzigwawo.
Ate mukama mbu tayagala bakaba,
yenze nakola ntya, kuba mukama nmwagala na abawala mbagala,
Gwe Eggulu nga olisibula , likubire bayi
welaba ngeze magombe omwoyo gwange ngutunze,
Katonda omugatika otya,
va mukyejo salawo,
tosobola kwagala
nyo mukama nga nekibi okyagala ×2
Njagala nyo mukama ,njagala nyo ansitule, njagala angate mu abo bayita Abana be ,
Nange anwanire kuntalo ziri ewange zinmenya, njagala nyo mukama no omutima gwange,
Buli lwe mulaba kumusalaba ,
Nakubibwa amalusu, laba bwafuka omusiru ku lwange omu,
Ee abange yanjagala mukama Nange nsanye nmwagale mbela mubi nyo nyo wesilokoka.
Sono nekilala nyumirwa nyo zimini,
Nze bino ebiwanvu bintega, ngala buli obumpi nenfuna emirembe.
Ate ezo mpisa mbi mu kanisa,
yenze nakola ntya kuba mukama nmwagala ne mini nzagala,
Nga Eggulu nga olisibula likubire bayi
welaba ngeze magombe omwoyo gwange ngutunze , ngutunze
katonda omugatika otya va mukyejo salawo,
Tosobola kwagala nyo mukama nga nekibi okyagala ×2.
Njagala nyo mukama njagala nyo ansitule njagala angate mu abo bayita Abana be nange mulabeko nga akola , nange mpeko kubujulizi , njagala angate mu abo abafuna okuganja.
Buli lwe ndowoza ku geyena ne mpulira nga ntya olaba eryanda wano linkubya enduru, ate ogwo omuliro ogutazikira nze ngutya mwana wange, njagala nyo mukama amponye okwokebwa.
Sono nekilala njagala nyo okuvuma
nze sivuma ne bavuma, ebya yesu mbisa wali nze tonmanyira, ate mukama mbu tayagala bavumi,
yenze nakola ntya kuba geyena njitya no okuvuma nmwagala.
Eggulu nga olisibula likubire bayi welaba ngeze magombe omwoyo gwange ngutunze katonda omugatika otya va mukyejo salawo .
Tosoblola kwagala nyo mukama nga nekibi okyagala ×2.